2 Chronicles 36:5-8

Yekoyakimu Kabaka wa Yuda

5 aYekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we. 6 bAwo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni. 7 cNebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye. 8Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira.

Copyright information for LugEEEE